Ezekiel 1:1-3

Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama

1 aAwo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. 2 bKu lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, 3 cekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.

Copyright information for LugEEEE